2 Chronicles 29:23-24

23 aEmbuzi ennume ezaali ez’ekiweebwayo ku lw’ekibi ne zireetebwa mu maaso ga kabaka n’ekibiina, ne bazisaako emikono gyabwe, 24 bn’oluvannyuma bakabona ne bazitta, ne bawaayo omusaayi gwazo ng’ekiweebwayo olw’ekibi ku kyoto, okutangiririra Isirayiri yenna, kubanga kabaka yali alagidde okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa n’ekiweebwayo olw’ekibi ku lwa Isirayiri yenna.

Copyright information for LugEEEE